Isaiah 46:3-4


3 a“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo
n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.
Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,
be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
4 bNe mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo.
Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga.
Nze nabakola era nze nnaabawekanga.
Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.
Copyright information for LugEEEE